\v 8 kubanga eira mwabbaire ndikirirya, naye atyanu muli musana mu Mukama waisu: mutambulenga ng'abaana b'omusana \v 9 (kubanga ebibala by'omusana biri mu busa bwonabwona n'obutuukirivu n'amazima), \v 10 nga mukeberanga Mukama waisu ky'ataka bwe kiri; \v 11 so temwikiriryanga kimu n'ebikolwa ebitabala eby'endikirirya, naye wakiri mubibuulirirenga bubuulirizi; \v 12 kubanga kye nsoni n'okubitumulaku ebyo bye bakola mu kyama.