\v 14 ebyo obibaijukiryanga, ng'obakuutirira mu maiso ga mukama waisu, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira. \v 15 fubanga okweraga ng'osiimibwa katonda, omukozi atakwatibwa nsoni, abitya wakati ekigambo eky'amazima.